2 Kings 23:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yajaajaamya ne Tofeti, ekiri mu kiwonvu Beni-Yinnomu wabulewo awongera Moleki mutabani we oba muwala we mu muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yavvoola era n’amenyaamenya ekyoto kya Tofesi ekyali mu Kiwonvu ky’abaana ba Kinomu, obutaganya muntu yenna kuwaayo mwana we owoobulenzi newaakubadde owoobuwala ng’ekiweebwayo eri Moleki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'asanyawo Tofesi ekiri mu kiwonvu eky'abaana ba Kinomu, omuntu yenna aleme okwokera mutabani we oba muwalawe mu muliro okuba ssaddaaka eri katonda Moleki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Yosiya era n'ayonoona Tofeti, ekifo mu Kiwonvu ky'Abahinnomu, walemenga kubaawo n'omu ayokerayo mutabani we oba muwala we okuba ekiweebwayo eri Lubaale Moleki, ekyokebwa nga kiramba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ayonoona Tofesi ekiri mu kiwonvu eky'abaana ba Kinomu, omuntu yenna aleme okuyisa omwana we ow'obulenzi newakubadde ow'obuwala mu muliro eri Moleki.