2 Kings 23:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaggya mu maaso g'Ekiggwa embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawongedde enjuba. Zalinga awo mu luggya kumpi n'ekisenge ky'omukungu eyayitibwanga Natani-Meleki. Yayokya n'ebigaali ebyali biwongeddwa enjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era yaggyawo n’embalaasi ezaali mu mulyango gwa yeekaalu, bassekabaka ba Yuda ze baali bawonze eri enjuba, era n’ayokya amagaali ze gaasikanga. Zaabeeranga mu luggya okuliraana n’ekisenge ekyali eky’omukungu Nasanumereki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aggyawo embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawongedde enjuba, ezaali okumpi n'awayingirirwa mu nnyumba ya Mukama, awali enju ya Nasanumereki omulaawe, eyali eriraanye Yeekaalu; n'ayokya omuliro amagaali agawongebwa eri enjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aggyawo embalaasi, bakabaka ba Buyudaaya abaamusooka ze baali bawongedde enjuba, n'ayokya amagaali gaayo agaali mu luggya okumpi n'awayingirirwa mu Ssinzizo okuliraana n'ekisenge kya Natani-Meleki omulaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aggyawo embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawadde enjuba, awayingirirwa mu nnyumba ya Mukama, awali enju ya Nasanumereki omulaawe, eyaliraana yeekaalu; n'ayokya amagaali g'enjuba omuliro.