2 Kings 23:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamenyawo emyaliiro bakabaka ba Yuda gye baali bakoze ku kasolya mu kisenge ekya waggulu ekya Akazi, n'emyaliiro Manasse gye yali akoze mu mpya ebbiri ez'Ekiggwa ky'Omukama. Yaziggyayo n'azaasaayasa, obulere n'abukasuka mu Kiwonvu Kiduroni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yamenyaamenya n’ebyoto bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye ku kasolya okumpi n’ekisenge ekya waggulu ekya Akazi, era n’ebyoto Manase bye yali azimbye mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Byonna yabiggyayo, n’abimenyaamenya, enfuufu yaabyo n’agiyiwa mu kiwonvu ekya Kiduloni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amenyamenya ebyoto ebyali waggulu ku nju eya waggulu eya Akazi, ne bakabaka ba Yuda bye baali bakoze, n'ebyoto Manase bye yali akoze, mu mpya zombi ez'ennyumba ya Mukama, n'abisuula wansi, naddira ebitundutundu byabyo, n'abisuula mu kagga Kidulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaalutaari bakabaka ba Buyudaaya ze baali bakoze waggulu wa kalinaabiri ya Ahazi, Kabaka Yosiya n'azimenyawo awamu ne zaalutaari ezaazimbibwa Kabaka Manasse mu mpya zombi ez'Essinzizo. N'azikoonakoona, n'azimenyaamenya, ebitundutundu byazo n'abisuula mu Kagga Kidurooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebyoto ebyali waggulu ku nju eya waggulu eya Akazi, bakabaka ba Yuda bye baali bakoze, n'ebyoto Manase bye yali akoze, mu mpya zombi ez'ennyumba ya Mukama, kabaka n'abimenyamenya n'abisindika wansi okubiggyayo, n'asuula enfuufu yaabyo mu kagga Kiduloni.