2 Kings 23:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosiya bwe yeebunguluza amaaso, n'alaba amalaalo agaali ku lusozi, n'alagira ne baggyamu amagumba, n'agookera ku mwaliiro ogujaajaamiziddwa, ng'Omukama bwe yayogera luli omuntu wa Katonda lwe yayatulira Yerobowamu bwe yali ayimiridde ku mwaliiro ku lunaku olukulu. Bwe yasitula amaaso, Yosiya n'alaba amalaalo g'omuntu wa Katonda eyali alanze ebintu bino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yosiya bwe yatunulatunula, n’alaba amalaalo agaali ku lusozi, n’agenda n’aggyamu amagumba g’abafu n’agokera ku kyoto n’akyonoona, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali omusajja wa Katonda kye yalangirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Yosiya bwe yatunulatunula n'alaba amalaalo agali eyo ku lusozi; n'atuma n'alagira ne baggyamu amagumba, n'agookera ku kyoto n'akyonoona ng'ekigambo kya Mukama, omusajja wa Katonda kye yalangirira ku kifo ekyo bwe kyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yosiya bwe yatunulatunula, n'alaba amalaalo agaali awo ku lusozi, n'alagira ne baggyamu amagumba n'agookera ku alutaari n'agyonoona nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu mulanzi we, eyalanga ebiribaawo mu kifo ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yosiya bwe yakebuka n'alaba amalaalo agali eyo ku lusozi; n'atuma n'aggya amagumba mu malaalo n'agookera ku kyoto n'akyonoona ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama omusajja wa Katonda kye yalangira eyalangira ebigambo bino.