2 Kings 23:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abuuza nti: “Ago malaalo gaani ge ndaba?” Ab'omu kibuga ekyo ne bamugamba nti: “Ge malaalo g'omuntu wa Katonda eyava mu Yuda n'alanga ebigambo ku mwaliiro gw'e Beteli ggwe wennyini gw'obikozeeko.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’abuuza nti, “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abasajja ab’ekibuga ne bamuddamu nti, “Ago ge malaalo ag’omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n’alangirira ebigambo ebikwata ku kyoto eky’e Beseri, by’okikoze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'abuuza nti Ekijjukizo ekyo kye ndaba kyani? Abasajja ab'omu kibuga ne bamuddamu nti Ge malaalo g'omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n'alangirira ebigambo ebyo by'okoze ku kyoto eky'omu Beseri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'abuuza nti: “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abantu ab'omu kibuga ekyo ne bamubuulira nti: “Ago ge malaalo g'omusajja wa Katonda eyava mu Buyudaaya, n'alanga ebintu ebyo by'okoze ku alutaari eno ey'e Beteli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayogera nti Kijjukizo ki ekyo kye ndaba? Abasajja ab'omu kibuga ne bamubuulira nti Ge malaalo g'omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n'alangirira ebigambo ebyo by'okoze ku kyoto eky'omu Beseri.