2 Kings 23:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'ebiggwa byonna ku bifo ebigulumivu ebyali mu bibuga bya Samariya bakabaka ba Yisirayeli bye baali bakoze - ekyanyiiza Omukama - Yosiya yabijaajaamya, nga bwe yali akoze eby'omu Beteli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amasabo gonna agaali mu bifo ebigulumivu bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye mu bibuga bya Samaliya ne baleetera obusungu bwa Mukama okubuubuuka, Yosiya n’agavvoola era n’agaggyawo nga bwe yakola e Beseri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'amasabo gonna ag'ebifo ebigulumivu agaali mu bibuga eby'e Samaliya, bassekabaka ba Isiraeri ge baakola, okusunguwaza Mukama, Yosiya n'agaggyawo n'agakola ng'ebikolwa byonna bwe byali bye yakola mu Beseri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amasabo gonna ag'omu bifo ebigulumivu agaali mu bibuga eby'e Samariya, bassekabaka ba Yisirayeli ge baali bazimbye ne basunguwaza Mukama, Yosiya n'agaggyawo, n'agakolako byonna nga bye yakola e Beteli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'amasabo gonna ag'ebifo ebigulumivu agaali mu bibuga eby'e Samaliya, bassekabaka ba Isiraeri ge baakola, okusunguwaza Mukama, Yosiya n'agaggyawo naakola ag'ebikolwa byonna bwe byali bye yakola mu Beseri.