2 Kings 23:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayambuka mu Kiggwa ky'Omukama wamu n'abasajja bonna aba Yuda, abantu bonna ab'omu Yeruzaalemu, bakabona, abalanzi n'abantu bonna okuva kw'asooka okutuuka kw'asembayo, n'asoma bonna nga bawulira ebigambo byonna eby'Ekitabo ky'Endagaano ekyali kizuuliddwa mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama ne bakabona, ne bannabbi, n’abantu bonna okuva ku wa wansi okutuukira ddala ku wa waggulu mu bitiibwa byabwe. N’asoma ebigambo eby’omu Kitabo eky’Endagaano ekyali kizuuliddwa mu yeekaalu ya Mukama, nga bonna bawulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'agenda mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda n'abe Yerusaalemi, bakabona, bannabbi n'abantu bonna, abato n'abakulu nga bali naye: n'abasomera ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekyazuulibwa mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agenda nabo mu Ssinzizo, awamu n'abasajja bonna ab'omu Buyudaaya, ne bonna ababeera mu Yerusaalemu, ne bakabona, n'abalanzi, n'abantu abalala bonna abakulu n'abato. N'asoma nga bawulira ebigambo by'omu Kitabo eky'Endagaano ekyazuulibwa mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi wamu naye ne bakabona ne bannabbi n'abantu bonna, abato n'abakulu: n'asoma mu matu gaabwe ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekizuuliddwa mu nnyumba ya Mukama.