2 Kings 23:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'alagira abantu bonna nti: “Mukuze Pasika ku lw'Omukama Katonda wammwe nga bwe kyawandiikibwa mu Kitabo ky'Endagaano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Mukwate Okuyitako kwa Mukama Katonda wammwe ng’ekyawandiikibwa bwe kiri mu Kitabo eky’endagaano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Yosiya n'alagira abantu bonna nti Mukwate Okuyitako kwa Mukama Katonda wammwe nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino eky'endagaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Yosiya n'alagira abantu nti: “Mukolere Mukama, Katonda wammwe, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, nga bwe kyawandiikibwa mu Kitabo eky'Endagaano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'alagira abantu bonna ng'ayogera nti Mukwate Okuyitako eri Mukama Katonda wammwe nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino eky'endagaano.