2 Kings 23:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okukuza Pasika mu ngeri ng'eno kwali tekubangawo okuva mu budde obw'abalamuzi abaalamula Yisirayeli ne mu biseera byonna ebya bakabaka ba Yisirayeli ne Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuviira ddala ku mirembe gy’abalamuzi, ne ku mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri n’aba Yuda, tewaaliwo kukwata Mbaga ey’Okuyitako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuviira ddala ku mirembe gy'Abalamuzi abaafuga Isiraeri, waali tewabangawo Mbaga ejjuukirirwako Kuyitako yenkana awo, newakubadde mu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri, wadde mu gya bassekabaka ba Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuviira ddala ku mirembe gy'Abalamuzi abaafuga Yisirayeli, waali tewabangawo Mbaga Ejjuukirirwako Kuyitako yenkana awo, newaakubadde mu mirembe gya bassekabaka ba Yisirayeli, wadde mu gya bassekabaka ba Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima tebaakwatanga Kuyitako okwenkana awo okuva ku mirembe gy'abalamuzi abaalamula Isiraeri newakubadde mu mirembe gyonna egya bassekabaka ba Isiraeri newakubadde mu gya bassekabaka ba Yuda;