2 Kings 23:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'abasamize, emmandwa, bulubaale bw'awaka, ebifaananyi bya balubaale n'ebirala byonna ebyenyinyalwa ebyali mu nsi ya Yuda ne mu Yeruzaalemu Yosiya yabiggyawo, atuukirize ebigambo by'Etteeka ebyawandiikibwa mu kitabo kabona Kilukiya kye yasanga mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era n’abafumu, n’aboogeza emizimu, n’ebifaananyi, n’eby’emizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, n’abiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo eby’etteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate Yosiya n'aggyawo mu Yerusaalemi ne mu Yuda abo abaaliko emizimu n'abasawo ne baterafi n'ebifaananyi n'emizizo gyonna, alyoke anyweze ebigambo eby'amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosiya era n'aggyawo mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna, abasamize, n'abalogo, ne balubaale ab'omu maka, n'ebifaananyi abantu bye basinza, n'ebintu ebirala byonna ebyenyinyalwa, alyoke anyweze eby'amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo, Hilukiya kabona kye yazuula mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate abo abaaliko emizimu n'abasawo ne baterafi n'ebifaananyi n'emizizo gyonna egyalabika mu nsi ya Yuda ne mu Yerusaalemi Yosiya n'abiggyawo, alyoke anyweze ebigambo eby'amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu nnyumba ya Mukama.