2 Kings 23:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bakabaka abaamukulembera temwalimu kabaka amufaanana, eyadda ew'Omukama n'omutima gwe gwonna, n'omwoyo gwe gwonna, n'amaanyi ge gonna, mu mutima gwennyini ogw'Etteeka lyonna erya Musa. Ne mu bakabaka abaamuddirira tasangikanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era tewali kabaka eyasooka Yosiya wadde eyamuddirira eyamufaanana era eyakyukira Mukama n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna era n’amaanyi ge gonna, ng’agoberera Amateeka ga Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tewali mu bakabaka bonna abaamusooka wadde abaamuddirira eyafaanana Yosiya mu kukyukira Mukama n'omutima gwe gwonna, n'amaanyi ge gonna n'emmeeme ye yonna okutuukiriza amateeka ga Musa gonna nga bwe gali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosiya oyo, mu bakabaka bonna abaamukulembera, tewali n'omu eyamwenkana mu kukyukira Mukama n'omutima gwe gwonna, n'omwoyo gwe gwonna, n'amaanyi ge gonna, ng'atuukiriza ebiri mu Mateeka ga Musa gonna, era ne mu baamuddirira tewali yasinga ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tewali kabaka eyamusooka eyamufaanana eyakyukira Mukama n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna n'amaanyi ge gonna ng'amateeka ga Musa gonna bwe gali; so n'oluvannyuma lwe tewaagolokoka n'omu eyamufaanana.