2 Kings 23:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye era Omukama teyaleka busungu bwe obukambwe obwesera obwali bweserera ku Yuda, olw'okubeera okunyiiga Manasse kwe yali amunyiizizzaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Mukama n’atakendeeza ku busungu bwe obungi obwabuubuukira ku Yuda, olw’ebikolwa byonna ebya Manase ebyaleetera Mukama okusunguwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama teyaleka kiruyi kye ekingi ekyamusunguwaliza Yuda olw'ebyo Manase bye yakola ebyamusunguwaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka era Mukama n'atalekaayo kusunguwalira nnyo Buyudaaya olw'ebyo Manasse bye yakola okumusunguwaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye Mukama n'atakyuka kuleka ekiruyi kye ekingi ekyabuubuusa obusungu bwe eri Yuda olw'okusunguwaza kwonna Manase kwe yamusunguwaza.