2 Kings 23:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti: “Ne Yuda nzija kumuggyawo mu maaso gange nga bwe naggyawo Yisirayeli; nzija kuboola Yeruzaalemu ekibuga kino kye neerondera n'Ekiggwa kino kye nayogerako nti: ‘Erinnya lyange liribeeranga omwo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’ayogera nti, “Ndiggyawo Yuda mu maaso gange nga bwe nnaggyawo Isirayiri, era n’ekibuga Yerusaalemi kye nneeroboza, wamu ne yeekaalu eno gye nayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabanga omwo,’ siribisaako nate mwoyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogera nti Ndiggyawo Yuda ne bwenaggyawo Isiraeri era ndisuula ekibuga kino Yerusaalemi kyenneroboza, n'ennyumba gye nnayogerako nti Erinnya lyange mwe linasinzirizibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Ndiggyawo Buyudaaya mu maaso gange, nga bwe naggyawo Yisirayeli. Ndiboola ekibuga kino Yerusaalemu kye neeroboza, era n'Essinzizo lye nayogerako nti mwe banansinzizanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Ndiggyawo ne Yuda mu manso gange nga bwe nziyeewo Isiraeri, era ndisuula ekibuga kino kye nneeroboza, Yerusaalemi, n'ennyumba gye nnayogerako nti Erinnya lyange linaabanga eyo.