2 Kings 23:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde bwe Faraawo Neko kabaka w'e Misiri yayambuka okugenda ku Mugga Furaati ayambe kabaka wa Assuri. Kabaka Yosiya n'agenda okumusisinkana. Naye Neko bwe yamulaba, Neko n'amuttira e Megiddo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro ebyo, Falaawo Neko nga ye kabaka wa Misiri n’ayambuka okutabaala kabaka w’e Bwasuli ku Mugga Fulaati; kabaka Yosiya n’agenda okumubeera, naye Falaawo Neko olwamulengera ng’ajja, n’amuttira e Megiddo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mirembe gye Yosiya, Falaawoneko kabaka w'e Misiri n'atwala eggye lye ku mugga Fulaati okuyamba kabaka w'e Bwasuli. Kabaka Yosiya n'agenda okumulwanyisa. Neeko bwe yalaba Yosiya n'amuttira e Megiddo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mirembe gye, Faraawo Neeko Kabaka w'e Misiri n'ajja n'eggye okuyamba kabaka wa Assiriya ku Mugga Ewufuraate. Kabaka Yosiya n'agenda okumulwanyisa. Neeko bwe yalaba Yosiya, n'amuttira e Megiddo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku mirembe gye Falaawoneko kabaka w'e Misiri n'atabaala kabaka w'e Bwasuli ku mugga Fulaati: Yosiya n'amutabaala: n'amuttira e Megiddo bwe yamulaba.