2 Kings 23:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'ayimirira ku mpagi, n'addamu endagaano mu maaso g'Omukama: okugoberera Omukama, okukwatanga ebiragiro bye, by'ayigiriza n'amateeka ge n'omutima gwe gwonna, n'omwoyo gwe gwonna, bw'atyo n'akakasa buto ebigambo by'Endagaano eyo ebyali biwandiikiddwa mu kitabo kino. Abantu bonna ne beeyama okukuuma endagaano eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’ayimirira okuliraana empagi n’azza obuggya endagaano ne Mukama, okutambuliranga mu kkubo lya Mukama, n’okukwatanga amateeka ge, n’okutambuliranga mu mpya ze, n’okugonderanga ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna, ng’akakasa ebyawandiikibwa ebyali mu kitabo ekyo. Awo abantu bonna ne beewaayo okuzza endagaano obuggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'ayimirira awali empagi n'alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambula okugoberera Mukama n'okukwata amateeka ge n'ebyo bye yategeeza n'ebiragiro bye n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna okunyweza ebigambo by'endagaano eno ebyawandiikibwa mu kitabo kino: abantu bonna ne bayimirira nabo okukakasa endagaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'ayimirira kumpi n'empagi, n'akola endagaano mu maaso ga Mukama, okumuwuliranga n'okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, ne bye yakuutira, n'alagaanya nti anaabikwatanga n'omutima gwe gwonna, n'emmeeme ye yonna, era anaatuukirizanga ebigambo by'endagaano eyo, nga bwe byawandiikibwa mu kitabo ekyo. Abantu bonna ne bayimirira okukakasa nga banaakuumanga endagaano eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayimirira awali empagi n'alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambula okugoberera Mukama n'okukwata amateeka ge n'ebyo bye yategeeza n'ebiragiro bye n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna okunyweza ebigambo by'endagaano eno ebyawandiikibwa mu kitabo kino: abantu bonna ne bayimirira okwesibira endagaano.