2 Kings 23:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowakazi yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu esatu; yafugira emyezi esatu mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyakaazi we yaliira obwakabaka yalina emyaka amakumi abiri mu esatu, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyakaazi bwe yali awezezza emyaka abiri mu esatu (23), bwe yatandika okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyahaazi yali wa myaka amakumi abiri mu esatu we yafuukira kabaka, n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Hamutali, muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyakaazi, yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu esatu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.