2 Kings 23:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo Neko yamusibira e Ribula ekiri mu nsi y'e Kamati aleme kufuga mu Yeruzaalemu. N'abinika Yuda omusolo gwa talenta za ffeeza kikumi, ne talenta emu eya zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo Neko n’amuggya ku bwakabaka n’amusibira mu masamba e Libula mu nsi y’e Kamasi obutaddayo kufuga mu Yerusaalemi, era n’asalira Yuda omusolo ogw’effeeza ttani ssatu ne bisatu byakuna ne zaabu kilo amakumi asatu mu nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Falaawoneko n'amusibira mu masamba e Libula mu nsi y'e Kamasi aleme okufuga mu Yerusaalemi: n'asalira ensi omusolo ogw'effeeza talanta kikumi (100) n'ezaabu talanta emu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Neeko kabaka w'e Misiri n'amusibira e Ribula mu nsi ya Hamati, aleme okufuga mu Yerusaalemu. N'asalira Buyudaaya omusolo gwa talanta kikumi eza ffeeza ne talanta emu eya zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Falaawoneko n'amusibira mu masamba e Libula mu nsi y'e Kamasi aleme okufuga mu Yerusaalemi: n'asalira ensi omusolo ogw'effeeza talanta kikumi n'ezaabu talanta emu.