2 Kings 23:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo Neko yasikiza Eliyakimu mutabani wa Yosiya ku bwakabaka mu kifo kya kitaawe Yosiya, erinnya lye n'alikyusa n'amutuuma Yoyakimu. Yaddira Yowakazi n'amutwala mu Misiri gye yafiira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Falaawo Neko n’afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu. N’aggyayo Yekoyakaazi, n’amutwala e Misiri, era eyo gye yafiira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Falaawoneko n'afuula Eriyakimu mutabani wa kabaka Yosiya; okuba kabaka mu kifo kya kitaawe, n'akyusa erinnya lye n'amutuuma Yekoyakimu: Falaawoneko n'atwala Yekoyakaazi e Misiri n'afiira eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Neeko oyo n'alonda Eliyakimu mutabani wa Yosiya n'amufuula kabaka mu kifo kya Yosiya kitaawe, n'akyusa erinnya lya Eliyakimu, n'amutuuma Yehoyakiimu. Neeko n'atwala Yehoyahaazi e Misiri, Yehoyahaazi n'afiira eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Falaawoneko n'afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka mu kifo kya Yosiya kitaawe, n'awaanyisa erinnya lye, n'amutuuma Yekoyakimu: naye n'aggyayo Yekoyakaazi; n'ajja e Misiri n'afiira eyo.