2 Kings 23:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyakimu yawanga Faraawo ffeeza ne zaabu. Okusobola okusasula ffeeza nga Faraawo bwe yasaba, Yoyakimu ensi yagibinika omusolo, n'akakanga abantu okuwa ffeeza ne zaabu nga bwe baagerekerwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyakimu n’awangayo effeeza ne zaabu nga Falaawo Neko bwe yalagira. Era okusobola okutuukirizanga ekyo, Yekoyakimu yawoozanga abantu, n’abaggyangako effeeza ne zaabu nga buli muntu bwe yagerekebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Yekoyakimu n'asolooza ffeeza n'ezaabu ku bantu b'omu nsi ye okusinziira ku nfuna yaabwe, alyoke aweze omuwendo gw'ensimbi ez'omusolo kabaka w'e Misiri gwe yamulagira okusasula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Yehoyakiimu n'asolooza ffeeza ne zaabu ku bantu b'omu nsi ye okusinziira ku nfuna yaabwe, alyoke aweze omuwendo gw'ensimbi ez'omusolo kabaka w'e Misiri gwe yamulagira okusasula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyakimu n'awa Falaawo effeeza n'ezaabu; naye n'asalira ensi ebintu okuwaayo effeeza eyo nga Falaawo bwe yalagira: yasolooza effeeza n'ezaabu ku bantu ab'omu nsi, ku buli muntu nga bwe yasalirwa ebintu, okubiwa Falaawoneko.