2 Kings 23:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyakimu yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu etaano; yafugira emyaka kkumi na gumu mu Yeruzaalemu. Erinnya lya nnyina nga ye Zebida muwala wa Pedaaya ow'e Ruma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyakimu we yafuukira kabaka yali awezezza emyaka amakumi abiri mu etaano, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow’e Luuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyakimu yali awezezza emyaka abiri mu etaano (25) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow'e Luuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyakiimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, n'afugira mu Yerusaalemu emyaka kkumi na gumu. Nnyina yali Zebida, muwala wa Pedaaya ow'e Ruuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyakimu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano, bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow'e Luuma.