2 Kings 23:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'alagira Kilukiya kabona omukulu, bakabona ab'eddaala eryokubiri n'abakuumi b'oku mulyango bakasuke ebweru w'Ekiggwa ky'Omukama ebintu byonna ebyali bikoleddwa olwa Baali, Asera n'eggye ly'emmunyeenye z'eggulu. Yabyokera ebweru wa Yeruzaalemu mu nnimiro ezaali mu Kiwonvu Kiduroni, evvu lyabyo n'alitwala e Beteli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona abaamuddiriranga, wamu n’abaggazi okuggya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebya Baali n’ebya Asera, n’eby’eggye lyonna ery’omu ggulu, n’abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri mu kiwonvu kya Kiduloni, evvu n’alitwala e Beseri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona ab'omutindo ogwokubiri n'abaggazi, okufulumya mu Yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebyakolerwa Baali ne Asera ne mmunyeenye ez'omu ggulu: n'abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri ku Kidulooni, n'evvu lyabyo n'alitwala e Beseri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Yosiya n'alagira Hilukiya Ssaabakabona, ne bakabona abamuddirira, n'abaggazi b'e Ssinzizo, okufulumya mu Ssinzizo ebintu byonna ebyakozesebwanga mu kusinza Baali ne lubaale omukazi Asera, ne mu kusinza ebyakira ku ggulu byonna. Kabaka n'abyokera ebweru wa Yerusaalemu, mu ttale ly'omu Kiwonvu Kidurooni, evvu lyabyo ne litwalibwa e Beteli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona ab'omutindo ogw'okubiri n'abaggazi, okufulumya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebyakolerwa Baali ne Asera n'eggye lyonna ery'omu ggulu: n'abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri ku Kiduloni, n'evvu lyabyo n'alitwala e Beseri.