2 Kings 23:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yazikiriza bakabona bakabaka ba Yuda be baali bataddeyo okunyookezanga obubaani mu bifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda n'ebyetoolodde Yeruzaalemu, n'abo abaanyookezanga Baali obubaani, enjuba, omwezi, ebibinja by'emmunyeenye, n'eggye lyonna ery'emmunyeenye z'eggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agoba bakabona abaasinzanga ebifaananyi abaali balondeddwa bassekabaka ba Yuda okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu mu bibuga ebya Yuda n’okwetooloola Yerusaalemi, n’abo abayoterezanga obubaane eri Baali n’enjuba n’omwezi, n’eri emunyeenye n’eri eggye lyonna ery’omu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aggyawo bakabona abaasinzanga ebifaananyi bakabaka ba Yuda be baayawula okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetooloode Yerusaalemi; n'abo abaayotererezanga obubaane Baali n'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aggyawo bakabona abasinza ebitali Katonda, bakabaka ba Buyudaaya abaamusooka be baateekawo okunyookezanga obubaane ku bifo ebigulumivu bye basinzizaamu, ebyali mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemu, era n'abo abaanyookezanga obubaane eri Baali, n'enjuba, n'omwezi, n'emmunyeenye, n'ebirala byonna ebiri ku ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aggyawo bakabona abaasinza ebifaananyi bakabaka ba Yuda be baayawula okwoterereza obubaane ku bifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetooloode Yerusaalemi; n'abo abaayotererezanga obubaane Baali n'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye n'eggye lyonna ery'omu ggulu.