2 Kings 23:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaggya empagi ya Asera mu Kiggwa ky'Omukama n'etwalibwa ebweru wa Yeruzaalemu mu Kiwonvu Kiduroni n'agyokera eyo. Yagyasaayasa n'agifuula vvu, n'alimansa ku malaalo aga lukale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aggya empagi ya Asera mu yeekaalu ya Mukama, n’agitwala ebweru wa Yerusaalemi mu kiwonvu ekya Kiduloni, n’agyokera eyo. N’agisekulasekula n’asaasaanya evvu lyayo ku malaalo ag’abantu abaabulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aggya ekifaananyi kya Asera mu nnyumba ya Mukama n'akitwala ebweru wa Yerusaalemi n'akireeta ku kagga Kidulooni n'akyokera ku kagga Kidulooni n'akirinnyirira n'akifuula effufugge, n'amansa effufugge lyakyo ku malaalo g'abakopi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aggya ekifaananyi kya lubaale omukazi Asera mu Ssinzizo, n'akitwala ebweru wa Yerusaalemu, ku Kagga Kidurooni, n'akyokerayo, n'akisekulasekula, n'akifuula olusennyente, n'amansa olusennyente olwo mu kifo ekiziikibwamu abafu ekyalukale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aggya Asera mu nnyumba ya Mukama ebweru wa Yerusaatemi n'akireeta ku kagga Kiduloni n'akyokera ku kagga Kiduloni n'akirinnyirira n'akifuula effufugge n’asuula effufugge lyakyo ku malaalo g'abakopi.