2 Kings 23:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamenyawo ebigango bya bamalaaya abasajja ab'omu biggwa ebyali mu Kiggwa ky'Omukama, abakazi mwe baalukiranga engoye za Asera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era yamenyaamenya n’ennyumba ez’abaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya Mukama, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amenyamenya ennyumba ez'abaalyanga ebisiyaga ezaali mu nnyumba ya Mukama, abakazi gye baalukiranga ebitimbibwa ku kifaananyi kya Asera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amenyerawo ddala ebisulo by'abasajja abaakolanga eby'obukaba ku basajja bannaabwe. Ebisulo ebyo byali mu Ssinzizo, era mu byo abakazi mwe baalukiranga ebitimbirwa lubaale omukazi Asera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amenyamenya ennyumba ez'abaalyanga ebisiyaga ezaali mu nnyumba ya Mukama, abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.