2 Kings 23:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakuŋŋaanya bakabona bonna mu bibuga bya Yuda; ebifo ebigulumivu bakabona kwe baanyookerezanga obubaani n'abijaajaamya, okuva e Geba okutuuka e Beriseba; yazikiriza ebifo ebigulumivu ku miryango, ebyali ku muzigo gw'Omulyango gwa Yoswa, omukulu w'ekibuga, ku kkono wa wankaaki w'ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yosiya n’aleeta bakabona bonna okuva mu bibuga bya Yuda, n’ayonoona ebifo ebigulumivu okuva e Geba okutuuka e Beeruseba, bakabona gye baayoterezanga obubaane, era n’amenyaamenya amasabo agaali okumpi ne wankaaki ow’oku Mulyango gwa Yoswa, omukulembeze ow’ekibuga, agaali ku luuyi olwa kkono olwa wankaaki ow’ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aggyawo bakabona bonna mu bibuga bya Yuda byonna, n'asanyaawo ebifo ebigulumivu bakabona kwe baayoterezanga obubaane, okuva e Geba okutuuka e Beeruseba; n'amenyamenya ebifo ebigulumivu ebyali okumpi n'awayingirirwa ku mulyango gwa Yoswa omukulu w'ekibuga, ebyali ku mukono ogwa kkono ng'oyingira mu wankaaki w'ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aleeta mu Yerusaalemu bakabona bonna abaali mu bibuga bya Buyudaaya, n'ayonoona mu ggwanga lyonna ebifo byonna ebigulumivu bye baasinzizangamu, era bakabona mwe baanyookerezanga obubaane mu ggwanga lyonna, okuva e Geba okutuuka e Beruseba. Era n'azikiriza ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu ebyali okumpi n'awayingirirwa mu Mulyango gwa Yoswa, omukulu w'ekibuga ekyali ku mukono ogwa kkono omuntu ng'ayingira mu Wankaaki w'Ekibuga Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aggya bakabona bonna mu bibuga bya Yuda, n'ayonoona ebifo ebigulumivu bakabona kwe baayoterezanga obubaane, okuva e Geba okuruuka e Beeruseba; n'amenyamenya ebifo ebigulumivu eby'oku nzigi ebyali awayingirirwa mu mulyango gwa Yoswa omukulu w'ekibuga, ebyali ku mukono ogwa kkono ogw'omuntu awali wankaaki w'ekibuga.