2 Kings 23:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka bakabona b'ebifo ebigulumivu tebaaweerezanga ku mwaliiro gwa Mukama mu Yeruzaalemu, naye baalyanga ku migaati egitazimbulukuse ne bakabona bannaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga bakabona bali ab’oku bifo ebigulumivu tebaweerezanga ku kyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, balyanga emigaati egitali mizimbulukuse wamu ne bakabona bannaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka bakabona abo abaakoleranga mu bifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, ne batakkirizzibwa kuweereza mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, naye baayinzanga okulya ku migaati egitazimbulukusiddwa egiweereddwa bakabona bannaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bakabona abo abaakoleranga mu bifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, ne batakkirizibwa kuweereza mu Ssinzizo mu Yerusaalemu, naye baayinzanga okulya ku migaati egitazimbulukusiddwa egiweereddwa bakabona bannaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye bakabona ab'ebifo ebigulumivu ne batayambuka eri ekyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, naye ne baliiranga emigaati egitazimbulukuswa mu baganda baabwe.