2 Kings 24:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu biseera bya Yoyakimu Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni yakola olulumba. Yoyakimu n'afuuka muweereza we okumala emyaka esatu; oluvannyuma yeekyusa n'amujeemera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba, era n’afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu. Naye Yekoyakimu oluvannyuma n’ajeema, n’akola olutalo ku Nebukadduneeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mirembe gye Yekoyakimu, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'agenda n'alumba Yuda, n'afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu, oluvannyuma n'akyuka n'amujeemera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyakiimu bwe yali nga ye kabaka, Nebukadunezzari Kabaka wa Babilooniya n'alumba Buyudaaya, Yehoyakiimu n'afuuka omuweereza we okumala emyaka esatu, oluvannyuma n'amwefuulira, n'amujeemera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku mirembe gye Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'ayambuka, Yekoyakimu n'afuuka omuddu we emyaka esatu: awo n'alyoka akyuka n'amujeemera.