2 Kings 24:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyakini kabaka wa Yuda n'afuluma n'ajja ewa kabaka w'e Babiloni, ye yennyini, nnyina, abaweereza be, abakungu be n'abalaawo be ne beewaayo mu mikono gye. Kabaka w'e Babiloni n'amukwata mu mwaka ogwomunaana ogw'obwakabaka bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyakini kabaka wa Yuda, yali awezezza emyaka munaana kasookedde alya obwakabaka: n'afuluma n'agenda ne yeewaayo eri kabaka w'e Babbulooni, ye ne nnyina, n'abaddu be n'abakungu be n'abaami be, n'amukwata n'amusiba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyakiini kabaka wa Buyudaaya, ng'ali wamu ne nnyina, n'abaweereza be, n'abakungu be, n'abaami be, n'avaayo, ne yeewaayo mu mikono gya Kabaka w'e Babilooniya. Nebukadunezzari mu mwaka ogw'omunaana nga ye kabaka, n'akwata Yehoyakiini n'amusiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyakini kabaka wa Yuda n'afuluma n'ajja eri kabaka w'e Babulooni, ye ne nnyina n'abaddu be n'abakungu be n'abaami be: kabaka w'e Babulooni n'amukwata mu mwaka ogw'omunaana kasooka alya abwakabaka.