2 Kings 24:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nebukadunezzari yatwala amakula gonna ag'Ekiggwa ky'Omukama n'ag'olubiri lwa kabaka, n'ayasaayasa ebintu byonna ebya zaabu Solomoni kabaka wa Yisirayeli bye yali akoze mu Kiggwa ky'Omukama ng'Omukama bwe yali agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza n’atwala eby’obugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, n’okuva mu lubiri lwa kabaka, era n’atemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ng’abitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Nebukadduneeza n'aggyamu eby'obugagga byonna eby'omu nnyumba ya Mukama, ne byali mu nnyumba ya kabaka, n'abitwala, era n'atematema ebintu byonna ebya zaabu Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yakola mu Yeekaalu ya Mukama nga Mukama bwe yayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyobugagga byonna eby'omu Ssinzizo, n'eby'omu lubiri lwa kabaka, n'abiggyamu, n'abitwala. Era nga Mukama bwe yagamba, Nebukadunezzari n'amenyaamenya ebintu byonna ebya zaabu, Solomooni kabaka wa Yisirayeli bye yali atadde mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aggyamu eby'obugagga byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'atematema ebintu byonna ebya zaabu Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yakola mu yeekaalu ya Mukama nga Mukama bwe yayogera.