2 Kings 24:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatwala Yeruzaalemu yenna mu buwaŋŋanguse: abakungu bonna, abatabaazi bonna, be basajja nga mutwalo mulamba, na buli mukugu mu mirimu gy'emikono n'okuweesa; tewaali kyalekebwa mu ggwanga wabula abantu abasinga obwavu mu ggwanga bokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atwala abantu b'omu Yerusaalemi nga basibe: abakungu bonna, n'abasajja bonna ab'amaanyi abazira, abasibe omutwalo gumu (10,000) bonna awamu, omwali abaweesi, n'abakugu bonna mu mirimu egitali gimu. Tewali baasigalayo mu Yuda, okuggyako abo abaali abaavu ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nebukadunezzari n'atwala abantu b'omu Yerusaalemu nga basibe: abakungu bonna, n'abasajja bonna ab'amaanyi abazira, abasibe omutwalo gumu bonna awamu, omwali abaweesi, n'abakugu bonna mu mirimu egitali gimu. Tewali baasigalayo mu Buyudaaya, okuggyako abo abaali abaavu lunkupe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atwalira ddala Yerusaalemi kyonna n'abakungu bonna n'abasajja bonna ab'amaanyi abazira, abasibe kakumi, ne baffundi bonna n'abaweesi; tewali abaasigalawo wabula abo abaasinga obwavu ku bantu ab'omu nsi.