2 Kings 24:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Yoyakini yamuwaŋŋangusiriza e Babiloni, wamu ne nnyina kabaka, bakazi be, abakungu be, n'abatuuze abakulu mu ggwanga; bonna n'abaggya e Yeruzaalemu n'abatwala mu Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nebukadduneeza n’atwala Yekoyakini e Babulooni nga musibe okuva mu Yerusaalemi, era n’atwala ne nnyina, ne bakyala ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami abaali ab’ekitiibwa mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atwala Yekoyakini e Babbulooni; ne nnyina kabaka ne baka kabaka n'abaami be n'abakulu ab'ensi n'abatwala e Babbulooni nga basibe ng'abaggya e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka w'e Babilooniya n'atwala Yehoyakiini e Babilooni wamu ne nnyina, ne bakazi be, n'abakungu be, n'abantu abatutumufu mu Buyudaaya. N'abaggya e Yerusaalemu, n'abatwala e Babilooni nga basibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atwala Yekoyakini e Babulooni; ne nnyina kabaka ne baka kabaka n'abaami be n'abakulu ab'ensi n'abatwala e Babulooni nga basibe ng'abaggya e Yerusaalemi.