2 Kings 24:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zedekiya yafuuka kabaka nga wa myaka abiri mu gumu; mu Yeruzaalemu yafugiramu emyaka kkumi na gumu. Nnyina ye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zeddekiya we yafuukira kabaka yalina emyaka amakumi abiri mu gumu, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zeddekiya yali awezezza emyaka abiri mu gumu (21) bwe yatandika okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zeddeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu we yafuukira kabaka, n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Hamutali, muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zeddekiya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu gumu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.