2 Kings 24:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amusindikira ebikwanga ebyaya eby'Abakaludeya, eby'Abaaramu, eby'Abamowabu, n'eby'Abammoni bizikirize Yuda ng'ekigambo ky'Omukama bwe kyali kye yali ayogedde ng'ayita mu baweereza be abalanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’asindikira Yekoyakimu ebibinja by’Abakaludaaya, n’Abasuuli, n’Abamowaabu, n’Abamoni, n’abatuma okulumba Yuda, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu baweereza be bannabbi bwe kyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'asindika ebibinja bya b'Abakaludaaya, neby'Abasuuli, n'eby'Abamowaabu, n'eby'Abamoni, okulumba Yekoyakimu, bizikizirize Yuda, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu baddu be bannabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'asindika ebibinja by'Abakaludaaya, n'eby'Abassiriya, n'eby'Abammoni okulumba Yehoyakiimu, bizikirize Buyudaaya, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu baweereza be abalanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'amusindikira ebibiina eby'Abakaludaaya n'ebibiina eby'Abasuuli n'ebibiina eby'Abamowaabu n'ebibiina eby'abaana ba Amoni, n'abasindika ku Yuda okugizikiriza ng'ekigambo kya Mukama kye yayogera n'omukono gw'abaddu be bannabbi.