2 Kings 24:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino byonna byagwira Yeruzaalemu ne Yuda olw'obusungu bwa Katonda, obwamuleetera okubagoba mu maaso ge. Kati nno Zedekiya yagenda n'ajeemera kabaka w'e Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byonna ebyatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, byabaawo olw’obusungu bwa Mukama obwababubuukirako, era n’oluvannyuma n’abagoba mu maaso ge. Naye oluvannyuma Zeddekiya y’ajeemera kabaka w’e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okubanga Mukama yasunguwalira nnyo ab'omu Yerusaalemi, n'ab'omu Yuda, kyeyava abagoba mu maaso ge: Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'asunguwalira nnyo ab'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya, n'abagoba mu maaso ge. Zeddeekiya n'ajeemera kabaka w'e Babilooniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kyatuukirira mu Yerusaalemi ne mu Yuda lwa busungu bwa Mukama okutuusa lwe yamala okubagoba mu maaso ge: Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babulooni.