2 Kings 24:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebintu bino byagwira Yuda olw'obusungu bw'Omukama eyayagala Yuda amuggye mu maaso ge olw'ebibi bya Manasse byonna bye yakola,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ddala ebyo by’atuukirira ku Yuda ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, okubaggya mu maaso ge olw’ebibi bya Manase n’ebirala byonna bye yakola,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima ekyo kyajjira Yuda lwa kiragiro kya Mukama, okubaggya mu maaso ge olw'okwonoona kwa kabaka Manase;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala Mukama ye yalagira kibe bwe kityo, okuggyawo abantu b'omu Buyudaaya mu maaso ge, olw'ebibi byonna Kabaka Manasse bye yakola,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima ekyo kyajjira Yuda lwa kiragiro kya Mukama, okubaggya mu maaso ge olw'okwonoona kwa Manase nga byonna bwe byali bye yakola;