2 Kings 24:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'olw'omusaayi ogutaliiko musango gwe yayiwa, kubanga yajjuza Yeruzaalemu n'omusaayi gw'abataliiko musango; Omukama nga tasobola kusaasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’okwo kwe kuli okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Yajjuza Yerusaalemi n’omusaayi ogutaliiko musango, Mukama kye yali tagenda kusonyiwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'olw'omusaayi ogutaliiko musango gwe yayiwa; kubanga yajjuza Yerusaalemi omusaayi ogutaliiko musango: Mukama n'atamusonyiwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naddala olw'abantu abataliiko musango Manasse oyo be yatta, kubanga yajjuza Yerusaalemu omusaayi gw'abantu be yattira obwereere. Mukama n'asalawo obutasonyiwa Manasse olw'ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'olw'omusaayi ogutaliiko musango gwe yayiwa; kubanga yajjuza Yerusaalemi omusaayi ogutaliiko musango: Mukama n'atayagala kusonyiwa.