2 Kings 24:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Misiri teyaddayo kuva mu nsi ye kulumba, anti kabaka w'e Babiloni yali atutte ebitundu bye byonna, okuva ku Kiwonvu Misiri okutuuka ku mugga Furaati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’e Misiri teyava nate mu nsi ye, kubanga kabaka w’e Babulooni yali awambye ebibye byonna okuviira ddala ku mukutu gw’Omugga ogw’e Misiri oguyiwa ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Mugga Fulaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wa Misiri teyaddamu kuva mu nsi ye kujja kulumba, kubanga kabaka w'e Babbulooni yali yeefuze ekitundu kyonna ekyabanga ekya kabaka w'e Misiri, okuva ku kagga k'e Misiri, okutuuka ku mugga Fulaati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Misiri teyaddamu kuva mu nsi ye kujja kulumba, kubanga Kabaka w'e Babilooniya yali yeefuze ekitundu kyonna ekyabanga ekya kabaka w'e Misiri, okuva ku Kagga k'e Misiri, okutuuka ku Mugga Ewufuraate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w'e Misiri teyeeyongera nate kujjanga okuva mu nsi ye: kubanga kabaka w'e Babulooni yali alidde byonna ebyabanga ebya kabaka w'e Misiri okuva ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati.