2 Kings 24:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyakini yafuuka kabaka nga wa myaka kkumi na munaana; yafugira emyezi esatu mu Yeruzaalemu. Erinnya lya nnyina nga ye Nekusuta muwala wa Elunatani ow'e Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyakini we yafuukira kabaka yalina emyaka kkumi na munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow’e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyakini yali awezzeza emyaka kkumi na munaana (18) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow'e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyakiini yali wa myaka kkumi na munaana we yafuukira kabaka, n'afugira mu Yerusaalemu emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nehusita, muwala wa Elunatani ow'e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyakini yali yaakamaze emyaka kkumi na munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: n'ennyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow'e Yerusaalemi.