2 Kings 25:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka n'atwala abantu abalala abaali bakyasigadde mu kibuga, n'abaali beegasse ku kabaka w'e Babiloni, n'abantu abalala bonna aba bulijjo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala abantu bonna abaali basigaddewo mu kibuga, mu buwaŋŋanguse nga basibe, n’abaali baasenga kabaka w’e Babulooni, n’abalala bonna abaali mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n'abo abaali beewaddeyo ne badda ku ludda lwa kabaka wa Babbulooni awamu n'abalala bonna, Nebuzaladaani omukulu w'abakuumi ba kabaka n'abatwala e Babbulooni nga basibe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n'abo abaali beewaddeyo ne badda ku ludda lwa kabaka wa Babilooniya awamu n'abalala bonna, Nebuzaradaani omukulu w'abakuumi ba kabaka n'abatwala e Babilooni nga basibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu abafisseewo abasigadde mu kibuga n'abo abaasenguka abaasenga kabaka w'e Babulooni n'abaffisseewo ku kibiina, abo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abatwalira ddala nga basibe.