2 Kings 25:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omukulu w'abakuumi ba kabaka yalekamu abasinga obwavu mu ggwanga ng'abakozi mu mizabbibu n'ennimiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula yalekamu abaali basemberayo ddala obwavu mu nsi eyo, okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omukulu w'abambowa n'aleka abantu b'omu nsi abali abaavu ennyo, okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga mu nnimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka n'aleka mu Buyudaaya abaavu lunkupe, okulimanga n'okulabiriranga ennimiro z'emizabbibu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omukulu w'abambowa n'aleka ku abo abaasinga obwavu ab'omu nsi eyo okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga.