2 Kings 25:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakaludeya baamenya empagi ez'ekikomo ezaali mu Kiggwa ky'Omukama, obutandaalo n'Ennyanja ey'ekikomo ebyali mu Kiggwa ky'Omukama, n'ekikomo kyabyo kyonna ne bakitwala mu Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ez’ebikomo n’ebyuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, n’ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’ebikomo byamu ne babitwala e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakaludaaya ne bamenyamenya n'empagi ez'ebikomo ezaali mu Yeekaalu, n'ebikondo ebiriko nnamuziga, n'ogutanka ogunene, eby'ekikomo, ne balyoka batwala ekikomo kyabyo e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakaludaaya ne bamenyaamenya n'empagi ez'ebikomo ezaali mu Ssinzizo, n'ebikondo ebiriko nnamuziga, n'ogutanka ogunene, eby'ekikomo, ne balyoka batwala ekikomo kyabyo e Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama Abakaludaaya ne babimenyamenya, ne batwala ebikomo byamu e Babulooni.