2 Kings 25:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, Ennyanja n'obutandaalo Solomoni bye yali akoledde e Kiggwa ky'Omukama, ekikomo ekyava mu bintu bino byonna, kyalema empima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, ne mu nnyanja, ne mu byuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, Sulemaani bye yakolera yeekaalu ya Mukama, obuzito bwakyo nga tebumanyiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Empagi zombi, n'ettanka ennene, n'entebe Sulemaani ze yakolera ennyumba ya Mukama; obuzito bwe kikomo ky'ebintu bino byonna nga tebupimika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empagi zombi, ogutanka ogunene, n'ebikondo ebiriko nnamuziga, Solomooni bye yakolera Essinzizo lya Mukama, obuzito bw'ekikomo kyabyo tebwapimibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empagi zombi, ennyanja emu, n'entebe Sulemaani ze yakolera ennyumba ya Mukama; ebikomo eby'ebintu bino byonna tebyagereka.