2 Kings 25:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva mu kibuga yatwalamu omugabe omu eyali omukulu w'abatabaazi, abasajja bataano mikwano gya kabaka be yasangiriza mu kibuga, n'omuwandiisi w'omukulu w'eggye eyawandiisanga abayingira eggye ly'eggwanga, n'abasajja nkaaga ab'eggye ly'eggwanga abaali basangiddwa mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era yatwala n’omukungu eyaduumiranga abasajja abalwanyi, n’abakungu abalala bataano abatuulanga ku lukiiko lwa kabaka; era n’atwala n’omuwandiisi omukulu eyavunaanyizibwanga okuyingizanga abantu mu magye mu nsi ya Yuda, n’abasajja abannansi nkaaga abaasangibwa mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu kibuga, n'aggyamu omukungu eyali akulira ab'amaggye, n'abasajja bataano ku abo abaatukiriranga kabaka okuwa amagezi abaali bakyali mu kibuga, n'omuwandiisi omukulu, eyawandiikanga abasserikale mu ggye mu ggwanga, n'abasajja nkaaga (60) ku bantu abatutumufu mu ggwanga, abaali bakyali mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mu kibuga, n'aggyamu omukungu eyali akulira ab'amagye, n'abasajja bataano ku abo abaatuukiriranga kabaka okumuwa amagezi abaali bakyali mu kibuga, n'omuwandiisi omukulu, eyawandiikanga abaserikale mu ggye mu ggwanga, n'abasajja nkaaga ku bantu abatutumufu mu ggwanga, abaali bakyali mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mu kibuga n'aggyamu omwami eyakulira abasajja abalwanyi; n'abasajja bataano ku abo abaalabanga amaaso ga kabaka abaalabika mu kibuga; n'omuwandiisi omukulu w'eggye eyayolesanga abantu ab'omu nsi; n'abasajja nkaaga ku bantu ab'omu nsi eyo abaalabika mu kibuga.