2 Kings 25:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka w'e Babiloni n'abakuba n'abattira mu Ribula mu nsi y'e Kamati. Bw'atyo Yuda n'aggyibwa mu nsi ye n'agenda mu buwaŋŋanguse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’e Babulooni n’abattira eyo e Libula, mu nsi y’e Kamasi. Bw’atyo Yuda n’atwalibwa mu buwaŋŋanguse nga musibe, okuva mu nsi ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'e Babbulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu nsi y'e Kamasi. Bwe batyo abantu ba Yuda bwe bagyibwa mu nsi yabwe nebawaŋŋangusibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mu nsi y'e Hamati. Kabaka oyo n'abakuba n'abattira eyo. Bwe batyo Abayudaaya bwe baggyibwa mu nsi yaabwe nga basibe, ne bawaŋŋangusibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka w'e Babulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu nsi y'e Kamasi. Bw'atyo Yuda n'atwalibwa nga musibe ng'aggibwa mu nsi ye.