2 Kings 25:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni yassa Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani afuge abantu abaalekebwa mu nsi ya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alonda Gedaliya mutabani wa Akikamu, muzzukulu wa Safani okuba omukulembeze w’abo abaali basigaddewo mu Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'ateekawo Gedaliya, mutabani wa Akikamu, era muzzukulu wa Safani, okuba omufuzi w'abantu abaasigala mu Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'ateekawo Gedaliya, mutabani wa Ahikaamu, era muzzukulu wa Safani, okuba omufuzi w'abantu abaasigala mu Buyudaaya, kabaka oyo be yalekamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu abaasigala mu nsi ya Yuda Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yaleka, abo n'abafuulira Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani omukulu waabwe.