2 Kings 25:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagabe bonna ab'eggye bwe baawulira nga kabaka w'e Babiloni ataddewo Gedaliya ng'omufuzi, bonna n'abasajja baabwe abali nabo ne bajja ewa Gedaliya mu Mizupa; baali Yisimayeli mutabani wa Netaniya, Yokanani mutabani wa Kareya, Seraaya mutabani wa Tanukumeti Omunetofa, ne Yaazaniya Omumaaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakungu ab’eggye n’abasajja abalala bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya okuba omukulembeze, ne bagenda eri Gedaliya e Mizupa. Abasajja abakungu abo baali Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani mutabani wa Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa, ne Yaazaniya mutabani w’Omumaakasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakulu bonna mu ggye lya Yuda ne basajja baabwe abali basaasanidde mu nsi nga tebewaddeyo eri kabaka w'e Babbulooni, bwe baawulira nga kabaka we Babbulooni ataddewo Gedaliya okufuga Yuda, ne bagenda e Mizupa gye yali. Abagenda be bano: Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa ne Yaazaniya omwana w'Omumaakasi, bo n'abasajja baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulu bonna mu magye ga Buyudaaya ne basajja baabwe abaali bateewaddeeyo, bwe baawulira nga kabaka wa Babilooniya awadde Gedaliya obufuzi, ne bajja eri Gedaliya oyo e Mizupa. Abajja be bano: Yisimayeli mutabani wa Netaniya, ne Yohanaani, mutabani wa Kareya, ne Seraya, mutabani wa Tanuhumeti, ow'e Netofa, ne Yaazaniya mutabani w'omusajja ow'e Maaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaami bonna ab'eggye, bo n'abasajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w'e Babulooni afudde Gedaliya omukulu, ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa ne Yaazaniya omwana w'Omumaakasi, bo n'abasajja baabwe.