2 Kings 25:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo abantu bonna, okuva ku muto okutuuka ku mukulu n'abagabe b'eggye ne baddukira mu Misiri olw'okutya Abakaludeya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bonna okuviira ddala ku wawansi okutuukira ddala ku w’eddaala erya waggulu, n’abamaggye abakulu bonna, ne baddukira e Misiri, nga batidde Abakaludaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna abato n'abakulu n'abaami b'eggye ne basituka ne baddukira e Misiri: kubanga baatya Abakaludaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu bonna, abato n'abakulu, n'abakulu mu magye ne beesitula ne baddukira e Misiri, nga batidde Abakaludaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna abato n'abakulu n'abaami b'eggye ne bagolokoka ne bajja e Misiri: kubanga baatya Abakaludaaya.