2 Kings 25:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu ogw'okuwaŋŋangusibwa kwa Yoyakini kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, ku lunaku olwabiri mu olumu, Evili-Merodaki kabaka w'e Babiloni, mu mwaka mwe yafuukira kabaka, yakwatirwa ekisa Yoyakini kabaka wa Yuda n'amusumulula mu kkomera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda nga yakamala emyaka amakumi asatu mu musanvu mu buwaŋŋanguse mu busibe, nga Evirumerodaki kyajje afuuke kabaka w’e Babulooni, Evirumerodaki n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda okuva mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'asatu mu musanvu (37) ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'abiri mu musanvu Evirumerodaki mwe yafukira kabaka w'e Babbulooni; n'akwatirwa Yekoyakini kabaka wa Yuda ekisa, n'amuggya mu kkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Evilumerodaaki mu mwaka mwe yafuukira kabaka wa Babilooniya, n'akwatirwa Kabaka Yehoyakiini owa Buyudaaya ekisa, n'amuggya mu kkomera, ku lunaku olw'amakumi abiri mu omusanvu, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu, okuva Yehoyakiini kabaka wa Buyudaaya lwe yasibibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'amakumi abiri mu musanvu Evirumerodaki kabaka w'e Babulooni n'ayimusa omutwe gwa Yekoyakini kabaka wa Yuda okumuggya mu kkomera mu mwaka mwe yatanulira okufuga;