2 Kings 25:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyakini n'akyusa ebyambalo by'obusibe, era yaliiranga bulijjo ku mmeeza ya kabaka ebbanga lyonna ery'obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyakini n’aggyamu ebyambalo bye eby’ekkomera n’aliiranga wamu ne kabaka w’e Babulooni ku mmeeza ya kabaka ennaku zonna ez’obulamu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyakini n'aggyibwa mu byambalo by'ekkomera, era okuva olwo n'aliiranga ku mmeeza ya kabaka obulamu bwe bwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyakiini n'aggyibwa mu byambalo by'ekkomera, era okuva olwo n'aliiranga ku lujjuliro lwa Kabaka obulamu bwe bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awaanyisa ebyambalo bye eby'omu kkomera n'aliiranga emmere mu maaso ge ennaku zonna ez'obulamu bwe.