2 Kings 25:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku kulabirirwa, yaweebwanga ensako ye bulijjo okuva ewa kabaka buli lunaku ebbanga lyonna ery'obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’awanga Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku ennaku zonna ez’obulamu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'alagira bamuwenga omugabo ogwa buli lunaku, ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'alagira bamuwenga omugabo ogwa buli lunaku, ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okumuliisanga kabaka n'amuwa ebya bulijjo eby'okumuliisanga, buli lunaku omugabo gwalwo, ennaku zonna ez'obulamu bwe.